Ebitongole by’ebyokwerinda nga bikulembeddwamu ekya Police ekinoonyereza ku misango ekya CID biboye emmotoka 2 ez’abadde sipiika wa Parliament eye 11 Annet Anitah Among, era nga bikyagenda mu maaso n’o kunoonyerezaako ku byekuusa ku buli bw’enguzi n’obukenuzi.
Ziweze ennaku 3 ng’Abasirikale baaza amaka ga Among agenjawulo, era nga baggyayo ebintu ebyenjawulo ebitanategeerekeka, saako 2 ezirabiddwako nga zitikkibwa ku mmotoka ku bimmotoka bya police bi magulukkumi okuva mu maka ge ag’e Kigo.
Emmotoka eziboyeddwa kuliko ekika kya Rolls Royce No. UA 426EH ebalirirwamu obuwumbi bwa shs 3.5, saako Range Rover, n’ebintu ebirala okuli essimu, Laptop n’ebirala.

Emmotoka zino zigyiddwa e Kigo,okuyita ku luguudo lwa Entebbe Express-Gaba-Nsambya-Clock tower,Nakasero mu Kampala ne zisibira ku kitebe kya police e Nagguru gyezikuumirwa.
Ebitongole byokwerinda era bigenze mu maka ga Annet Anita Among agali Ntinda mu Kampala mu kifo ekimanyiddwa nga Ministers’ Village eno tetutegedde bigiddwawo, okuggyako okulaba abasirikale nga betaala.
Ensonda mu police zitegeezezza CBS nti emmotoka zino ku police e Naggulu gyezitwaliddwa zikuumibwa butiribiri, nga zigenda kuyamba abanoonyereza ku musango gw’obulyake n’obukenuzi ku Among okufuna obujjulizi obulumika, era tekimanyiddwa bbanga lyezigenda kumala ku kitebe kya police e Naggulu.
.
Sipiika Annet Anitah Among yalaangiridde dda nga bweyavudde mulwokaako lwa Sipiika wa Parliament eye 12 , nga kyategerekese nti ekibiina kya NRM kyanokoddeyo omubaka wa West Budama South Jacob Oboth Oboth okukikwatira bendera ku kifo kino.
Kigambibwa nti bino byonna eby’okumunoonyerezaako byavudde ku Among okusooka okulemera ku kifo kyobwa Sipiika, wadde nga yali alagiddwa President Museveni okuluvaamu, mu nsisiinkano eyatuula mu maka gwobwa President Entebbe.
Ensonda zitubulidde nti Among abadde ayitiridde okumasamasa ssente zomuwi womusolo era bannauganda bangi babadde bebuza ensiimbi zayiwayiwa gyazigya, era nga naabamu baawaandiikira Kaliisoliiso wa government nga bamusaba amunoonyerezeeko.
Parliament ye 11 Among gy’abadde akubiriza ebadde teva mu mawulire ku nsonga z’obulyake n’obukenuzi, nga waliwo ne bannauganda abazikolako omwoleso ku mutimbagano nga bavumirira engeri ssente gyeziyibwayibwa, so ng’empeereza eyandigasizza abantu ba bulijjo tematiza.
Waliwo n’abakungu abalala mu government ya Uganda abaweereddwa ebiwandiiko ebibayita okweyanjula eri ekitebe kya bambega e Kibuli, babeeko byebanyonyola ku byekuusa ku buli bw’enguzi n’obukenuzi, era abamu babadde yo okubaako byebannyonyola.
Ne gyebuli enno ebitongole byokwerinda tebinabaako kyebyogelera ku bikwekweto ebikoleddwa mu maka g’abadde Sipiika wa Parliament Annet Anitah Among age Kigo ,e Ntinda ne Nakasero, wabula cbs ekitegedeko nti biteekateeka okubaako byebabulira bannauganda mukasera akatali keewala.#












