Police mu bitundu bye Busoga eggalidde Bashir Waiswa wa myaka 59 egy’obukulu, ku bigambibwa nti abadde ateekateeka okukola obuyeekera ku government ya Uganda.
Police egamba nti omukwate abadde aliko abaana babadde awandiika ng’abasuubiza okubafunira amasomero n’emirimu ku bwereere, gyebiggwera ng’abatutte mu buyeekera.
Omwogezi wa police mu buvanjuba bwa Busoga Micheal Kafayo, agamba nti Waiswa bamukwatidde ku mulirano e Kenya.#