Omuddusi Peruth Chemutai awangulidde Uganda omudaali ogwa feeza mu mpaka z’ensi yonna eza Olympics eziyindira mu kibuga Paris ekya Bufalansa, akutte ekifo kyakubiri mu misinde gya mita 3000 egya Steeplechase.
Peruth Chemutai okuwangula omudaali gwa feeza emisinde gino agiddukidde eddakiika 8:53:34.
Munnansi wa Bahrain Yavi Winfred yawangudde emisinde gino, era naatekawo record empya ey’okudduka emisinde gino mu budde obutono mu mpaka za Olympics, nga agiddukidde edakiika 8:52:67.
Peruth Chemutai okuwangula omudaali gwa feeza kitegeeza nti kati Uganda erina emidaali 2 mu mpaka zino, nga Joshua Cheptegei yeyasose okuwangula ogwa Zaabu.
Peruth Chemutai era ajjukirwa nnyo okuwangulira Uganda omudaali gwa zaabu mu misinde gye gimu egya mita 3000 mu steeplechase mu mpaka za Olympics ezaali e Tokyo Japan mu 2020.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe