Parliament ya Uganda eyingidde mu nsonga y’ekibinja ky’abayizi abasoba mu 100 abaatwalibwa mu ggwanga lya Iran, nga baali basuubiziddwa okuweebwa sikaala okusoma, wabula nebaasiraanirayo.
Kigambibwa nti abaana abobuwala abaagendera mu kibinja kino baatandika okwenyigira mu bikolwa eby’okutunda omukwano olw’okubulwa ensimbi ezibayimirizaawo.
Parliament okuyingira mu nsonga zino kiddiridde omubaka wa Igara West Gaffa Mbwatekamwa okutegeeza parliament nti ng’ennaku z’omwezi 10 October,2023 offiisi ya NRM etuula e Kyambogo okuyita mu Hajjat Hadijah Namyalo yayisa obulango obwali buyita abantu abandyagadde okusomera mu ggwanga lya Iran, era abaana abasoba mu 200 bebewandiisa olwo nebasunsulako abayizi 100, abasobola okufuna omukisa guno ngabuli eyagenda yasooka kusasula doola za America 800.
Gafa agamba nti abaana bano baagenda okutuuka muggwanga lya Iran ngate ebyabasuubizibwa ssi bye biriyo.
Omubaka wa Kimaanya Kabonero Dr.Abed Bwanika akakasizza ensonga eno, era nalumiriza nti ku baana abaatwalibwa mu Iran kuliko now’oluganda lwe Paul Ssentongo, bwatyo nasaba ministry ekwatibwako ensonga eno okukola ekisoboka abaana bano bakomezebwewo.
Omumyuka wa sipiika wa Parliament Thomas Tayebwa Bangirana ategezeza nti eno ensonga siyakubalaatiramu, era bwatyo nasaba minister w’ensonga z’ebweru w’eggwanga okunyonyola Parliament ebikwata ku mbeera bannayuganda bano gyebalimu.
Mukwanukula minister wensonga z’ebweru w’egwanga Jeje Odongo ategeezezza nti ministry ekyayogerezeganya ne government ya Iran ku nsonga eno, basalewo eky’okukola.
Bisakiddwa: Edith Nnabagereka