Parliament wakati mu kusika omuguwa eyisizza okusaba kwa government okwongezaayo ekisanja ky’obukiiko bwebyalo okumala emyezi emirala 6.
Obukiiko buno bwagwako ng’ennaku z’omwezi 10 July 2023, wabula government netegeeza nti terina nsimbi zakuteekateeka kulonda kuno.
Minister wa government ez’ebitundu Rafael Magyezi ayanjulidde parliament ekiwandiiko ekimanyiddwanga statutory instrument ,ekyongezaayo ekisanja ky’obukiiko buno kyagambye nti kyakaanyiziddwaako olukiiko lwaba minister.
Ekiwandiiko kirambise nti embeera eriwo tesobozesa government kuteekateeka kulonda kuno olw’obutaba na nsimbi.
Minister Rafael agambye nti ebbanga ery’emyezi 6 litandika nga 10 July, ekisanja ky’obukiiko lwekyagwako era ebyakolebwa byonna okuva olwo bitwalibwa nti bituufu byali mu mateeka.
Wabula akulira oludda oluvuganya government Owek Mathias Mpuuga Nsamba asimbidde ekkuuli enteekateeka eno, naagamba nti ekikoleddwa okwongezaayo ekisanja ky’obukiiko bw’ebyalo kyabumenyi bwamateeka era tekisaanidde kukkirizibwa.
Asuman Basalirwa wabula alabudde nti gavument obutabeera nambulukufu ku nsonga ez’essimba eziremeseza okuteekateeka okulonda kuno, kyandiwa omwagaanya okwongezangayo okulonda okwemitendera emirala.
Ssemateeka weggwanga asaawo ebintu government gyeyinza okwesigamako okwongezaayo okulonda; embeera yakatyabaga ebeera erangiriddwa mu ggwanga, olutalo n’ensonga endala.
Minister Magyezi abuulidde parliament nti ensonga ezo zeyewozeeko okwongezaayo ekisanja ky’obukiiko bw’ebyalo okumala emyezi emirala 6.
Oluvannyuma lw’ennambika ezikoleddwa ku kiteeso ky’okunaanula ekisanja, sipiika wa Parliament Anitah Annet Among agambye nti sikituufu nti government terina nsimbi zitegeka kulonda, nti wabula parliament yetaayisa nsimbi ezo.
Sipiika wano wasinzidde naabuuzizza ababaka oba nga kyetaagisa okwongezaayo ekisanja, nga government bweyetegeka, bakkirizza era ekisanja kino nekikkirizibwa okwongezebwayo okumala emyezi emirala 6.
Obukiiko bw’ebyalo obuliko bwalondebwa nga 10 July 2018. Wabula okulondebwa okwo wekwabeerera ng’eggwanga lyali limaze ebbanga lya myaka 17 ng’okulonda okwo tekutegekebwa.#