Parlaiment etaddewo omusolo gwa value added Tax ku kampuni engwira zonna ezokumutimbagano bannayuganda zebalinako ebibanja.
Kampuni ezinokoddwayo eziteereddwako omusolo guno ,kuliko Ali express, E-Bay, Amozon, Netflix, Facebook, Twitter ne google.
Kampuni zino okusinziira ku tteeka eriyisiddwa erya Value Added Tax ,government egamba nti zikolebwako ebintu bingi okuli ekuyisaako obubaka bw’ebyobufuzi, obubaka obukwata ku byobuwangwa n’ennono, okutundirako eby’amaguzi ,okulangirako, okutundirako FILM, emizannyo, nokutegekerako ebivvulu by’ennyimba, okusomerako n’ebirala.
Wabula parliament esazeewo nti abakozesa emitimbagano gino okussoma bbo balekebwe ebbali baleme kusasulirako mukolo.
Omusolo guno okuteereddwa ku kampuni zino, gubaddeko okusika omuguwa okuva mu babaka abénjawulo.
Omubaka wa Butambala Mohammed Muwanga Kivumbi era minister w’ebyensimbi ku ludda oluvuganya government alabudde nti okuteeka omusolo gwa VAT ku mitimbagano naddala abakolerako ebyobufuzi ,ebyobuwangwa bwabwe nebirala kandibeera akakodyo kokuziba bannayuganda emimwa
Wabula minister omubeezi owebyensimbi Amos Lugoloobi, abuulidde parliament nti tekinologiya gyeyeyongera okukula,government nayo erina okwongera amaanyi mu kufuna amakubo omuva omusolo, naagamba nti omusolo guno kampuni zino ziggya kugusasula.
Minister Lugoloobi bwabuuziddwa engeri gavument gyegenda okukungaanyamu omusolo guno ku kampuni engwiira ezitali zakuno, agambye nti ekitongole ki URA kirina obusobozi okukungaanya omusolo guno.
Parliament era esazeewo nti pampa z’abaana awamu n’abantu abakulu ezisinga okukozesebwa abalwadde nábakadde ziteekebweko omusolo.
Government mu nnongosereza mu tteeka lino erya Value Added Tax , yali eyagala pampa (diapers) z’abantu abakulu naddala abakuzeeko mu myaka zisonyiyibwe omusolo olwensonga zebyobulamu.
Alipoota y’akakiiko ka parliament akalondoola eby’ensimbi akabadde kekeneenya ennongosereza mu tteeka lino erya Value Added Tax eyanjuddwa omumyuka wa ssentebbe waako Jane Pachuto, ebadde esembye nti pampa zábakulu zisonyiyibwe omusolo.
Alipoota y’ababaka abatono essomeddwa omubaka wa Butambala Mohammed Muwanga esabye parliament nti bwekiba kyakusoonyiwa musolo ku pampa, ezabakulu nezabato zonna zisonyiyibwe oba bweziba zakuteekebwako omusolo zonna ziteekebweko omusolo.
Wano omubaka omukyala owe Butambala Aisha Kabanda wasinzidde náwagira nti ne pampa zábakulu zigendeko omusolo nti kubanga zisinga kukozesebwa abasajja abenyigira mu muze gwómukwano ogwébikukujju.
Gyebigweredde nga parliament esazeewo nti pampa zonna ezabato n’abakulu ziteekebweko omusolo.
Mu mbeera yeemu, Sipiika wa palament Anita Among atabukidde akakiiko ka parliament ak’ebyensimbi akabadde kekeneenya ennongosereza ku byemisolo ,bwakizudde nti kaliko omusolo gwekabadde kakusiza mu tteeka lya excise duty nga guteekeddwa ku nsimbi eziteekebwa nokuggya mu bank oba ebitongole byensimbi ebirala okuyita mu nkola ya tekinologiya.
Alipoota y’akakiiko ka parliament kano essomeddwa amyuka ssentebe waako Jane Pachuto kabadde katadde omusolo gwa bitundu 0.5% ku buli muwendo gw’ensimbi omuntu zagya mu bank okuyita mu nkola ya tekinologiya.
Wabula sipiika Anita Among akizudde nti mu bbago ly’etteeka government lyeyanjula mu parliament , omusolo guno tegwalimu kwekubuuza amyuka ssentebe w’akakiiko kano Jane Pachuto gyeyaggye ennongosereza ennongoosereza eno.
Jane Pachuto mukwenyonyolako, agambye nti minister webyensimbi yayatwala eri akakiiko Kano ennongosereza eno, bweyaali anyonyola ku nnongosereza mu tteeka lino erya excise duty.
Anita Among asinzidde ku ku kunyonyola kuno, naalagira akakiiko omusolo guno gusiimuulwemu.
Anita Among akizudde nti era akakiiko kano tekaakola kwebuuza ku musolo guno ku bitongole ebikwatibwako ,okuli Uganda bankers association, bank enkulu n’ebirala.