Parliament eyisizza etteeka erikangavvula abantu abenyigira mu bikolwa eby’omukwano ogw’ebikukujju, ebibadde bifuukidde eggwanga lino omuteeru.
Mu tteeka lino, parliament eweredde ddala omuze gw’obusiyazi mu ggwanga, era eyisiza ebibonerezo ebikakali eri abantu abagwenyigiramu,abatumbuza obusiyazi, abasirikiriza abalala okubwenyigiramu naabo abakabasanya abaana abato nga babakozesa ebikolwa by’obusiyazi.
Ababaka ba parliament 389 bebawagidde ebbago lino nga liyisibwa, ku babaka 529 abali mu parliament eye 11.
Okusinziira ku ssemateeka weggwanga ,ababaka 176 bebetaagibwa okuwagira ebbago okuyita.
Abawagidde ebbago lino 389 basusse mwabo 176 abeetaagibwa.
Omuntu anatunuza omuntu aliko obulemu mu bikolwa eby’obusiyazi, oba omuntu gwalinako obuvunanyizibwa ,omuntu oyo naafa oba naamuwalaga ebirwadde byobukaba ekinonerezo kyakuttibwa
Mu tteeka lino, omuntu yenna asingisibwa omusango gwokukusa abaana abato nabayingiza mu bikolwa by’obusiyazi, kwosa okubakozesa ebikolwa byobusiyazi wakusibwa mayisa oba obulamu bwe bwonna mu nkomyo.
Okulaba obutambi obwobuseegu obukwata ku bikolwa by’obusiyazi oba okussomo ebitabo ebirimu ebikwata ku busiyazi , mu nkomyo webakayo emyaka 20.
Abaana abato abatanaweza myaka 18, abaneenyigira mu bikolwa byobulyi bwebisiyaga nabo bakusibwa emyaka 3, wabula bano SSI bakutwalibwa mu makomera awasisibwa abantu abakulu, bbo bakusibibwa mu makomera g’abaana abato.
Mu tteeka lino, abavunaanibwa ogw’obusiyazi n’okwenyigira mu bufumbo obwekikula ekimu okwekwasa nti bantu bakulu, era bakaanyiza kwekyo kyebaakoze ,parliament ekiweze kisaliddwawo nti abantu okwenyigira mu mukwano ogwebikukujju musango gwennyini mu ggwanga lino era ebibonerezo byagwo bikakali
Bannanyini bifo omukolebwa ebikolwa by’obusiyazi ng’akimanyi bulungi wabula natawaaba eri abobuyinza parliament esazeewo nti singa omusango gumukka muvvi, assibwe emyaka 10 mu nkomyo.
Okutumbula omuzze gw’ebisiyaga mu ggwanga ,parliament eyisizza nti abakwatiddwa n’ebasingibwa omusango ogwo, basibwe emyaka 20.
Omuze gw’okutumbula ebisiyaga gwali gutereddwako ekinonerezo kya myaka 10, wabula ababaka bakyongeza okutuuka ku myaka 20.
Omuntu mu bugenderevu agezaako okukaka omulala okumukozesa ebikolwa by’obusiyazi wabula ekikolwa kino nekitatuukirira naye wakusibwa emyaka 10.
Okugattibwa mu bufumbo obwekikula ekimu, oba okuteekateeka omukolo gw’obufumbo obwekikula ekimu naabo abeetabye ku mukolo ogwo, nabo gufuuliddwa musango era bakusibwa emyaka 10.
Sipiika wa parliament Anita Annet Among agambye nti parliament okuyisa ebbago lino ekikoze okutaasa eggwanga Uganda n’empisa zalyo ez’ennono.
Asuman Basaalirwa nnanyini kubaga bbago lino asabye omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni nti akozese obwangu okuteeka omukono ku bbago lino.
Fox Odoi omubaka eyawakanyizza ebbago lino ,agambye nti ababaka abangi bwebaba basazeewo baddembe,naabo abaliwakanyiza baawadde ensonga zabwe era zategerekese.
Akulira oludda oluvuganya government mu parliament agambye nti etteeka lino litegekeddwa bulungi, era n’asaba omukulembeze w’eggwanga aliseeko omukono awatali kwekwasa nsonga zonna.