Parliament eyisizza ebbago ly’etteeka eriwadde kkooti z’amagye obuyinza okuwozesa abantu babulijjo, abateeberezebwa okweyisaanga bannamagye, okwambala engoye, engatto n’ebyambalo by’amagye saako okukolagana nebannamagye okuzza emisango gyannaggomola egy’okulya munsi olukwe n’okusekeeterera government.
Ebbago ly’etteeka lino liyisiddwa wakati ng’aboludda oluvuganya government beesambye olutuula lwa parliament luno, nga balumiriza nti parliament teyakoze kwebuuza kumala ku bbago lino.
Wadde akulira oludda oluvuganya government Joel Ssenyonyi yalagidde ababaka abooludda oluvuganya government okwabulira parliament, wadde ng’eggulo limu yabadde ategeezezza nti ku mulundi guno sibakufuluma parliament, nti babadde bakusigalamu okubeerawo ng’abajulizi ng’etteeka lyebatakkiriziganya nalyo liyisibwa.
Wabula abamu ku babaka booludda oluvuganya government okuli owa Erute South Jonathan Odur, owa Kioga Okot Biteek n’abalala bagaanyi okufuluma era obwedda bano bebawadaawadako okwaηηanga bannaNRM ababadde bamaliridde okuyisa ebbago lino.
Abamu ku babaka b’oludda oluvuganya abasigaddeyo mu parliament basiimbidde ekkuuli ezimu ku nnyino ezibadde zireeteddwa era nebaziremesa okuyisibwa, omuli eky’okulemesa abantu ba bulijjo okwambala akakofiira akamyufu government kebadde eyagala okuwera nti k’amagye gokka.
Gyebiggweredde nga parliament eyisizza nti akakofiira kokka akalina okuvunaanibwa abantu ba bulijjo singa basaangibvwa nga bakaabadde, ke kamyufu akaliko akabonero k’amagye, sso ssi buli kakofiira kamyufu.
Omubaka Muhammad Nsereko owa NRM ategeezezza nti ababaka b’oludda oluvuganya abatono abasigadde mu parliament baliko obuwaayiro bwebasuuzizza mu tteeka era bubadde bwansonga, wadde ng’etteeka liyise.
Etteeka lino erirambika emirimu gy’eggye ly’eggwanga erya UPDF Ammendment Bill 2025 lisigalidde eri mukulembeze w’eggwanga okulissaako omukono, lissibwe munkola.
Bw’anaaba amaze okulissaako omukono, ne kooti y’amagye yakuddamu okuwulira emisango nga yesigama kukulambikibwa okwakolebwa kooti ensukkulumu, bweyali eyimiriza kooti eno olw’okuba nti yali teriiwo mu mateeka, saako abajituulako okuba nga baali tebalina bisaanyizo byetaagisa kugituulako.
Oluvanyuma lwokwabulira parliament ng’etteeka ligenda okuyisibwa , abooludda oluvuganya government balangiridde nti boolekera kkooti okuwakanya etteeka lino naddala ku buwaayiro obukwata ku kooti y’amagye okuwozesa abantu ba bulijjo, nga bagamba nti government egenderera kutulugunya bannabyabufuzi abali ku ludda olujivuganya.