Omumyuka wa Sipiika wa Parliament Thomas Tayebwa alagidde akakiiko ka Parliament akavunanyizibwa ku ddembe ly’obuntu kagende mu komera e Luzira, bekenenye embeera ya Rtd. Col. Dr Kiiza Besigye gyalimu,kakole alipoota enambulukufu era kajanjulire Parliament eyawamu.
Omubaka wa Buhweju County Francis Mwejjuki asoose kunenya parliament nti esusizza obutafaayo ng’abantu abenjawulo bemulugunya ku mbeera kko ne ndabika ya Dr.Besigye Kiiza gyalimu, okusinziira bweyabadde alabika bweyabadde aleeteddwa mu kooti.
Ababaka abalara okubadde Omubaka wa Bugiri Municipality aAsuman Basaalirwa, Omubaka wa kira municipality Ibrahim Ssemujju Nganda,kko naakulira oludda oluwabula government Joel Ssenyonyi nabo bagasse edoboozi ku lyamunaabwe nebasaba Parliament esitukiremu ku mbeera ya Col Dr Kiiza Besigye okwewala eby’olwatta omwami nalumanya.
Amyuka sipiika parliament Thomas Tayebwa ategezeza nti ne parliament tetudde ku nsonga zino, bwatyo nalagira akakiiko ka Parliament akavunaanyizibwa ku nsonga z’eddembe ly’obuntu okusitukiramu bunnambiro boolekere mu kkomera e Luzira nga 24 January,2025 banoonyereze ekituufu ekikwata ku mbeera ya Dr Kiiza Besigye, byebanazuula babyanjulire parliament eyawamu nga 28 January,2025.
Mungeri yeemu Sipiika Thomas Tayebwa ategeezezza nti Parliament yakukozesa alipoota y’akakiiko kano ak’eddembe ly’obuntu ne alipoota ya government egenda okuleetebwa,parliament esalewo kyezaako.
Commissioner era Omubaka wa Nyendo Mukungwe Owek. Mathias Mpuuga Nsamba ku nsonga yeemu asabye sipiika ne alipoota ekwata ku bawagizi b’ekibiina kya NUP e 18 abAabuzibwawo nayo ereetebwe lumu, Amyuka Sipiika Thomas Tayebwa ky’akirizza.
Bisakiddwa: Edith Nabagereka