Parliament ewadde minister w’amazzi n’obutonde bwensi ne minister w’ebyettaka namayumba nsalesale wa wiiki 3, baleete alipoota ekwata ku bibira ekya Ggunda mu district ye Wakiso n’ekibira kya Namyooya ekisangibwa mu district ye Mukono,ebigambibwa okugabanyizibwa abakulu mu government nebabifunako n’ebyapa.
Sipiika wa parliament Anita Among yayisizza ekiragiro kino, oluvanyuma lw’akulira oludda oluvuganya government mu parliament Mathias Mpuuga Nsamba okwanjula ensonga eno.
Mathias Mpuuga Nsamba agambye nti ettaka ly’ekibira kye Namyooya mu district ye Mukono waliwo bannabyabufuzi nebannamaggye abalifunako ebyapa.
Agambye nti eggwanga lyetaaga okumanya engeri abantu abo gyebafunamu ebyapa ku ttaka lyebibira, nga ne parliament terina kyemanyi.
Minister Beatrice Anywar w’obutonde bw’ensi agambye nti ensonga ezizingiramu ministry eziwerako okuli ey’obutonde bwensi ne y’ettaka zetaaga okukubirizibwa ssabaminisita w’eggwanga nakeeta alipoota eyawamu.
Omumyuka owokusatu owa sabaminisita w’eggwanga Hajjati Rukia Nakadama asabye parliament ebawe sabiiti 3 , bakole alipoota eno
Waliwo amawulire agazze gayitingana nga galaga nti waliwo abanene mu government okuli ba minister,ababaka ba parliament mu kibiina ki NRM, abakulembeze mu kibiina ki NRM abeegabanya ettaka ly’ekibira kye Gunda mu district ye Wakiso.
Wano parliament wesinzidde neragira government ereeta alipoota ennyonyola ku nsonga z’ekibira kino.#