Sipiika wa parliament Annet Anita Among alagidde minister wa government ez’ebitundu okutegeka olukiiko olwenjawulo mu bwangu, okukubaganya ebirowoozo ku nsonga ezikosa government ez’ebitundu.
Ensonga ezissiddwako essira kwekuli ensimbi ezisoloozebwa mu government ey’ebitundu neziweerezebwa mu government eya wakati, wabula nekifuuka kizibu okuziggyayo okukulaakulanya ebitundu, emisaala emitono, abakulembeze ba government obutaweebwa ngambula esaanidde n’ebirala.
Sipiika Anitah Annet Among agambye nti olukiiko luno naye wakulwetabamu , wamu naba ministry y’ebyensimbi, abakulembeze b’ekibiina ekigatta abakulembeze mu government ez’ebitundu ekya Uganda Local government Association.
Sipiika Among abadde mu district ye Wakiso ku Wakisha Resource Centre, mu ttabamiruka waba sipiika mu ggwanga lyonna aggudddewo omwaka guno 2025, nategeeza nti ensonga zino ziruddewo era ayagala bazigonjole mu bwangu .
Mungeri yemu ategeezezza nti parliament eteekateeka okuteesa ku tteeka erinaayitwamu okuwa abakulembeze mu government ez’ebitundu akasiimo bwebabeera bannyuse obuweereza bwabwe, nga bwekikolebwa ku bakulembeze abawaggulu .
Dr Matia Lwanga Bwanika ssentebe wa district ye Wakiso asabye parliament mu bwangu erowooze ne ku enkola eya federo nti yakugasa nnyo ebitundu, nti kubanga obuyinza bwebagamba nti bwaddayo mu bitundu babawa byooya byanswa .
Abamu Ku ba sipiika abyetabwe mu ttabamiruka ono nga bakulembeddwamu Ssaabawandiisi wa ULGA Richard Okuku, bategeezezza nti bbakyalina ebizibu biyitirivu mu bitundu byabwe ebikosa abantu ba bulijjo, naye nabbo tebakyalina buyinza kubigonjola olwa government okubaweesa ddyo ate nebagyisaako kkono.
Bisakiddwa: Tonny Ngabo