Omwana ow’emyaka 4 afiiridde mu nkuba ekedde okufudemba mu bitundu bye Kasese n’abalala 2 baddusiddwa mu ddwaliro.
Bino bigudde ku kyalo Butera mu gombolola ye Buhurira mu district ye Kasese.
Omwogezi we kitongole ekya Uganda Red Cross Society Irene Nakasiita agambye nti enju egudde ebaddemu abantu 7, era kati abasigaddewo tebalina webegeka luba.
Nakasiita akubirizza abantu abaliraanye ensozi n’emigga okuwetegula mangu ebifi eby’obulabe olw’enkuba etonnya eyongedde okugonza ettaka n’okwanjaala kw’emigga.
Bisakiddwa: Nakato Janefer