Eyali sipiika w’olukiiko lw Buganda Owek.Rotarian Nelson Kawalya aziikiddwa ku kyalo Buyuki mu ssaza Bulemeezi.
Omugenzi ayogeddwako ng`omusajja eyawereeza Obwakabaka n`obulamu bwe bwonna, ekkanisa wamu ne Rotary ate ng`ayagaliza buli muntu.
Bino byogeddwa omumyuka asooka Owa Katikkiro era avunanyibwa kunzirukanya y’emirimu mu bwakabaka Owek Al Hajji professor Twaha Kawaase Kigongo.
Omulabirizi we Mityana Kitaffe mu Katonda Bishop James Bukomeko Ssaalongo, asinzidde wanno nagugumbula banakigwanyizi n’amalindirizi agasenda ettaka lya bagenzi nga bakafa.
Omulabirizi we Namirembe Kitaffe mu Katonda Moses Banja, asabidde bannaYuganda ababi okuwona amayisa
Namwandu Annet Kawalya, yebazizza omutonzi olwemyaka 50 gyamuwangaziizza ne bbaawe, egibadde egy’omukwano.
Charles Brian Kawalya Kalibbala nga yayogedde Ku lwa bamulekwa bonna, ayogedde Ku kitabwe ng`omusajja abadde n`obuvunanyizibwa, era abaana be bonna aleese abateeseteese.
Omugenzi afiridde Ku myaka 75, alase abaana n’abazzukulu.#