• Latest
  • Trending
  • All
Owek.Nelson Kawalya eyali omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda afudde!

Owek.Nelson Kawalya eyali omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda afudde!

December 18, 2024
Cbs@29 – Cbs edduukiridde amaka ga bakateeyamba e Nalukolongo

Cbs@29 – Cbs edduukiridde amaka ga bakateeyamba e Nalukolongo

June 12, 2025
Okusoma embalirira ya Uganda 2025/2026 – ebyenjigiriza, eby’obulamu n’ekikula ky’abantu byebisiinze omutemwa omunene

Okusoma embalirira ya Uganda 2025/2026 – ebyenjigiriza, eby’obulamu n’ekikula ky’abantu byebisiinze omutemwa omunene

June 12, 2025

Ababaka ba parliament 9 baabulidde FDC nebegatta ku PFF

June 12, 2025
Cbs@29 – abakozi ba CBS bakoze bulungi bwansi mu katale k’e Kibuye

Cbs@29 – abakozi ba CBS bakoze bulungi bwansi mu katale k’e Kibuye

June 12, 2025
Ssentebe wa district Kamuli Maxwell Kuwembula afiiridde mu kabenje e Nakifuma

Ssentebe wa district Kamuli Maxwell Kuwembula afiiridde mu kabenje e Nakifuma

June 12, 2025
Butambala eyanjudde ttiimu egenda okuzannya empaka z’amasaza ga Buganda 2025 – omutendesi Hassan Mubiru

Butambala eyanjudde ttiimu egenda okuzannya empaka z’amasaza ga Buganda 2025 – omutendesi Hassan Mubiru

June 12, 2025
Government eyimirizzaamu enkola y’okukuba engassi ey’embagirawo eri abagoba b’ebidduka ku nguudo

Government eyimirizzaamu enkola y’okukuba engassi ey’embagirawo eri abagoba b’ebidduka ku nguudo

June 11, 2025
Buganda ezzizaawo omuti ogw’ebyafaayo – Ssakabaka Muteesa I weyatuula okuyita abazungu okuleeta ebyenjigiriza mu Uganda

Buganda ezzizaawo omuti ogw’ebyafaayo – Ssakabaka Muteesa I weyatuula okuyita abazungu okuleeta ebyenjigiriza mu Uganda

June 11, 2025
Buganda ezzizaawo omuti ogw’ebyafaayo – Ssakabaka Muteesa I weyatuula okuyita abazungu okuleeta ebyenjigiriza mu Uganda

NUP eronze obukulembeze bw’ekibiina obuggya – Robert Kyagulanyi Ssentamu azzeemu okulayizibwa ku bwa president ekisanja kya myaka 5

June 11, 2025
Buganda ezzizaawo omuti ogw’ebyafaayo – Ssakabaka Muteesa I weyatuula okuyita abazungu okuleeta ebyenjigiriza mu Uganda

Okusoma embalirira y’eggwanga 2025 /2026 – Police esazeewo okuggala enguudo ezimu e Kololo

June 11, 2025
Katikkiro Mayiga atongozza olukiiko lw’abayizi olukulira kaweefube w’okutaasa obutondebwensi

Katikkiro Mayiga atongozza olukiiko lw’abayizi olukulira kaweefube w’okutaasa obutondebwensi

June 11, 2025
Omwoleso gwa CBS pewosa Trade Fair – gusigaddeko ennaku 5 gutuuke okuva nga 17 – 22 June,2025

Omwoleso gwa CBS pewosa Trade Fair – gusigaddeko ennaku 5 gutuuke okuva nga 17 – 22 June,2025

June 11, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Amawulire

Owek.Nelson Kawalya eyali omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda afudde!

by Namubiru Juliet
December 18, 2024
in Amawulire
0 0
0
Owek.Nelson Kawalya eyali omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda afudde!
0
SHARES
95
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Eyali omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Owek.Nelson Kawalya avudde mu bulamu ɓw’ensi obudde bwebubadde bukya.

Afiiridde mu ddwaliro e Mengo gy’abadde addusiddwa ng’embeera etabuse.

Yazaalibwa 27 September, 1940 era afiiridde ku myaka 84 egy’obukulu.

Mutabani we Ssenteza Victor Kawalya agambye nti  nga family nga bakolera wamu n’ekkanisa, Obwakabaka ne Rotary bagenda kutuula okufulumya enteekateeka y’okuziika.

 Abadde yakajaguza emyaka 50 mu Bufumbo obutukuvu

Nga enaku z’omwezi 14 December,2024 Owek Nelson Kawalya  yakoze omukolo ogw’ebijaguzo eby’emyaka 50 mu bufumbo obutukuvu.

Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yamuweereza obubaka bweyatuma Omulangira Kintu Wasajja, yamusiima olw’emirimu gy’akoledde Obuganda, n’amwebaza n’okukuuma obufumbo.

Ku mukolo Owek.Nelson Kawalya kweyajagulizza emyaka 50 egy’obufumbo obutukuvu n’omukyala Naava Annet Kawalya

Omulabirizi eyawumula, Wilberforce Kityo Luwalira nga yeyakulemberamu okubulira ku mikolo egyo  , bweyali abakubya ebirayiro ebyemyaka 50, yebazizza nnyo mukyala we Naava Annet Kawalya olwebyo byakoze ebisobosezza Oweek Kawalya okufuuka omuwereza owenjawulo mu ggwanga lye.

Baafumbiriganya mu mwaka gwa 1974.

Omulabirizi Luwalira yayogera ku Kawalya ng’omuntu eyali omukkakkamu, abeera n’akamwenyumwenyu buli kadde, era abadde omuweereza mu bintu ebyenjawulo ate nga takulembeza kwekkusa yekka.

Aweerezza Obwakabaka bwa Buganda mu biti ebyenjawulo

Minister wa Buganda ow’eby’amawulire Owek.Israel Kazibwe Kitooke agambye nti Owek.Kawalya aweerezza Obuganda mu bifo ebyenjawulo awatali kwebalira.

Eyaliko Katikkiro wa Buganda Owek.JB Walusimbi n’Owek. Nelson Kawalya eyaliko omukubiriza w’Olukiiko, baali bagenda kulindirira Ssaabasajja Kabaka mu kuggulawo olukiiko olw’omulundi ogwa 27.
Katikkiro w Buganda Charles Peter Mayiga lweyalambula Owek.Nelson Kawalya mu ddwaliro e Mengo gyeyali amaze ennaku ng’olumbe lumubala embiriizi

Yaliko Omukiise mu kibiina ky’olulimi oluganda, minister w’ebyobulamu, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, era y’abadde omukuza w’omutaka Kalibbala.

Abadde yakatwala omutaka Kalibbala okukyalira bazzukulu b’essiga kya Kalanzi

Omukolo omulala gw’asembyeyo okubeerako, gwali gwa bazzukulu ba Kalibbala mu ssiga lya Kalanzi e Kiryanyonza  mu Ggombolola ya mumyuka Kalamba mu ssaza Butambala, Omutaka Kalibbala bweyali akyaliddeko bazzukulu be ab’essiga eryo.

Owek Nelson Kawalya yabakubiriza okukola kyebasobola okukyuusa ekika kyabwe nga batandikawo ebintu byenkulakulana, n’okukulaakulana embuga z’amasiga zonna n’ekika.

Abakozi b’Obwakabaka bwebaamumyalirako mu maka ge, mu January wa 2019 olumbe werwamuluma ennyo

Owek.Nelson Kawalya abadde munnaRotary ow’ensonga

Abadde munnarotary ow’amaanyi era nga yeyatandikawo Rotary Club ye Mengo era n’afuba okulaba ng’ebeerawo, kati emyaka egisoba mu 30.

Abadde past District governor wa Rotary.

Owek.Nelson Kawalya lweyatuuza Dorah Ngabo mu rotary, ng’ono muwala w’omugenzi Samuel Owori eyalondebwako nga International president wa Rotary munsi yonna

Owek.Kawalya akubiriza abakulembeze mu biti ebyenjawulo okwagazisa abavubuka okuyingira Rotary, n’obuweereza obwenjawulo.

Mu July wa 2024, abaasomerako ku ssomero lya Buddo Junior School bamusiima era nebamuwa engule, ng’omu ku bantu abakoleredde ennyo essomero eryo

Abadde omukiise ku lukiiko oluddukanya essomero lya Kampala School for the physically handcapped.#

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Cbs@29 – Cbs edduukiridde amaka ga bakateeyamba e Nalukolongo
  • Okusoma embalirira ya Uganda 2025/2026 – ebyenjigiriza, eby’obulamu n’ekikula ky’abantu byebisiinze omutemwa omunene
  • Ababaka ba parliament 9 baabulidde FDC nebegatta ku PFF
  • Cbs@29 – abakozi ba CBS bakoze bulungi bwansi mu katale k’e Kibuye
  • Ssentebe wa district Kamuli Maxwell Kuwembula afiiridde mu kabenje e Nakifuma

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist