Ng’eggwanga lyolekera eby’obufuzi ebya kanaayokyaani eby’olekera akalulu ka 2026, eyaliko omubaka we Bamunaanika era minister omubeezi oweebyenjigiriza, Dr. J.C Muyingo, alangiridde nti ssiwakuggyayo mpapula kuddamu kwesimbawo, ng’omubaka wa parliament.
Dr JC Muyingo, newankubadde ekiseera ekiyise abadde akuyega abantu okuwagira ng’okulonda kutuuse, yeefukuludde era yasazeewo kufuuka kyesirikidde mu enteekateeka ya NRM ey’okuggyayo empapula okuvuganya mu kamyufu ebadde egenda mu maaso.
Dr. JC Muyingo ategeezezza Cbs nti bweyeebuzizza ku bawagizibe ab’ensonga, baamutegezezza ebyobufuzi okusooka okubibeera ebbali.
Dr JC Muyingo mungeri yeemu aweze nti waakusigala ng’atambuza pulojekiti ze zonna zaabadde akola mu constituency, era nti zino abadde azikolako waadde takyali mubaka wa parliament.
Mu kalulu ka 2021 akasembayo, Dr JC Muyingo yavuganyiza ku ticket ya NRM kyokka mutabaniwe munna NUP Robert Ssekitooleko naamuwangula, ku bululu 27,850, Dr Muyingo ngaalina obululu 24,463.
Oluvanyuma abamu ku batuuze mu kitundu kye Bamunaanika baawulirwa nga bejjusa olwokusuula Dr JC Muyingo mu kalulu kano, nga bagamba nti baali bakoze nsobi okulonda buli eyalinako Umbrella abantu abenkizo ate nebasuulibwa.
Bisakiddwa: Ddungu Davis