Ekitongole ekiddukanya ekibuga Kampala KCCA kikakasizza nti kyakukola ekisoboka okuddaabiriza enguudo zonna eziri mu mbeera embi mu Kibuga Kampala, nga kikozesa ensimbi ezigenda okuva mu kittavvu ky’eggwanga eky’enguudo ki Uganda Road Fund.
KCCA egambye nti teyinza kutwala nsonga y’enguudo eziwomoggose mu kibuga nga ey’okusaaga, kubanga ziviiriddeko ebidduka okwonooneka, okutta ebiseera by’abatambuze, n’obubenje obusukkiridde mu Kampala nga biva ku binnya.
Mu mwezi gwa December omwaka oguwedde 2022, KCCA yakola okunoonyereza nezuula nti enguudo za Kampala zokka ziwezaako ebinnya bya square metre 8500, era kaweefube w’okukuba ebiraka ebinnya bino naatandika, yadde nga embeera esajjuka busajjusi.
Okusinziira ku akulira rkibuga Kampala Dorothy Kisaka, KCCA yetaaga obuwumbi bwa shilling za Uganda eziri wakati we 75 ne 100 buli mwaka , kyokka nga ku nsimbi zino zonna, obuwumbi 26 bwokka bwebukiweebwa.
Kisaka agambye nti ekitongole kiruddewo okufuna ensimbi okuddaabiriza enguudo n’okukola empya, newankubadde kyeekubidde enduulu eri ministry y’ebyensimbi, obukiiko bwa parliament obwenjawulo n’ebitongole ebirala nga tewali kanyego.
KCCA okuvaayo ku nsonga eno kivudde ku mwoleso gw’ebifaananyi by’ebinnya mu nguudo za Kampala ezenjawulo ogubumbujjidde ku mitimbagano omuli Twitter, Whatsapp, facebook ne Instagram ogwatandise nga bannansi basinziira mu buli nsonda ya Kibuga nebakuba ebifaananyi by’ebinnya mu nguudo za Kampala, nebabiraga ensi yonna.
Parliament nayo wano weyasinzidde okuyita abakulira ekibuga babeeko byebanyonyola.
Omwoleso guno gwakulembeddwamu munnamawulire eyakuguka mu kukuba ebifaananyi ebisiige ebya Cartoon Dr.Jimmy Spire Ssentongo.
Dr. Spire agamba nti omwoleso gw’ebifaananyi by’ebinnya byomu Kampala, agamba nti omwoleso guno gujjumbiddwa nnyo nti kubanga bannauganda balaze enyiike mu ngeri ey’emirembe, olw’embeera y’enguudo za Kampala gyezirimu.
Wabula minister omubeezi owa Kampala Kabuye Kyofatogabye agamba nti wadde omwoleso guno gugenda mu maaso, nti naye bamativu nti n’enguudo ezikoleddwa eziri mu mbeera ennungi weziri.
Wadde guli gutyo, omumyuka wa sipiika wa parliament Thomas Tayebwa agambye nti ba minister ba Kampala n’abakulira KCCA balina okulabikako mu parliament ku Tuesday wiiki ejja bongere okutaanya ensonga eno.
Tayebwa agamba nti ekikwasa ennaku kwekuba nti n’omutindo gw’enguudo gubulamu, naawa eky’okulabirako eky’enguudo okuggalwa okumala emyaka 3 nga gikolebwa, wabula oluggulwawo zimala myezi bwezi negitandika okuwomoggoka.#