Omwoleso gw’obulimi n’obulunzi ogwa CBS PEWOSA NSINDIKANJAKE gutandise ku mbuga y’essaza Buddu.
Omwoleso guno gwakumala ennaku 6, gutandise leero nga 4 September, gukomekkerezebwa nga 9 September,2024.
Wasooseewo Omusomo gw’okubangula abantu ba Ssaabasajja Kabaka ku kirime eky’emmwanyi, okuviira ddala ku ttaka kwezirina okulimibwa, engeri gy’ofunamu ensimbi okuzirima, endokwa entuufu, endabirira, amakungula, akatale, okugattako omutindo n’amateeka agakwata ky mmwanyi ezitundibwa munda mu ggwanga n’ebweru.
Abooleesi baleese endokwa, ensigo, ebyuma ebikozesebwa mu bulimi, tractor n’ebyamaguzi ebirala bingi, saako ebitongole ebikola emirimu egyenjawulo okuli ne bya government.#