Entiisa ebutikudde abatuuze be Mutumba A mu district ye Namayingo, omwana owe myezi 4 bwafiridde mu n.nyumba ekutte omuliro.
Bibaddewo ku saawa emu eyokumakya nga 26 February,2025, abazadde bomwana Masaba Richard n’omukyala babadde bakedde mu nnimiro.
Masaba agamba baleseemu abaana babiri nga beebase ,omugenzi n’owemyaka esatu, nebabalekera tadooba nga eyaka.
Abomuliraano bebalengedde ekikka nga kifubuutuka mu nyumba, kwekudduka balabe ogubadde, wabula basanze omwana omuto nga yafudde dda, basobodde kutaasaako ow’emyaka 3.
Ebintu byomunju saako sente enkalu emitwalo 700,000/=, nabyo bifiuse vvu.
emitwalo 70 wansi womufaliso ezifuuse evvu.
Mayor wa Town Council ye Mutumba, Ogenyi Patrick agambye bafunye nnyo ebizibu olw’abazadde okulekanga abaana baabwe abato bokka mu nnyumba.#
Bisakiddwa: Kirabira Fred