Entiisa ebuutikidde abayizi n’abasomesa ku ssomero Wansimba primary school mu district ye Jinja, omuyizi ow’emyaka 14 bwakubye munne wa myaka 16 ekikonde ku nsingo naagwa wansi nafiirawo.
Bino bibaddewo ku saawa nga mukaaga ezomutuntu eranga kigambibwa nti babadde balwanira rubber eyeyambisibwa okusiimuula ebiwandiiko.
Amyuka RDC mu district eno Hassan Kasibante agambye omulambo gugyiddwayo ku ssomero gutwaliddwa mu ggwanika lye ddwaliro e Jinja.
Kasibante alabudde nabasomesa abasiiba mu miti ku Tiktok nebeerabira obuvunanyizibwa bwabwe, nagamba nti bakulondolwa bakangavvulwe.#










