Museveni yakwata enkasi y’okukulembera Uganda nga 26 January,1986 okuvannyuma lw’okuwangula olutalo lw’ekiyeekera olwali lumaze emyaka 5.
Wabula nga yesigama ku ssemateeka w’eggwanga, government yateekateeka okulonda olwo bannauganda nebamuwa akalulu nga 09 May,1996 era kekalulu akamuggulirawo ekisaanja ekyasookera ddala ekya 1996-2001.
Okuva olwo emboozi ku mimwa gya bannauganda gyebabadde basinziirako okumuyiira akalulu yeyookuba nga yaleeta emirembe n’okubasobozesa okwebaka ku ttulo.
Wabula president Museveni bw’abadde yakamala okulayira okutandika ekisanja ekyomusanvu ekya 2026-2031 mu kisaawe e Kololo, alaangiridde nti ekisanja kino ssikyakudda mu ttulo wabula kyakukola, era naalangirira Olutalo olw’okulwanyisa obwavu eri buli munnauganda ng’atuukiriza obuvunaanyizibwa bwe.
Agambye nti mu kisanja kino siwakugumiikiriza bwavu, enguzi n’abakozi ba government abalagajjalira emirimu gyabwe.
Mwebase emyaka 40 egiyise, kino ekisanja kyakukola ssikyakwebaka.
“2026 -2031 Kisanja no sleep, no Corruption” – president Museveni
Alabudde n’abantu abesenza mu ntobazi n’okwonoona obutonde bw’ensi.
Agambye nti enkulaakulana ya Uganda mu kisanja kino esiimbye ku mpagi 4 omuli ebya Technology, eby’enjigiriza, amakolero saako obulimi n’obuvubi nga birina obutale.
Museveni azeemu okujjukiza amawanga ga Africa okukwasiza awamu bayitimuse amawanga ga Africa.
Azeemu n’okujjukiza omukago ogutaba ebibiina byebyobufuzi ebirina ababaka mu parliamenr ogwa Inter-party Organization for Dialogue, (IPOD), okukolaganira awamu mu kubaga ennoongosereza mu mateeka g’ebyokulonda.
President wa Burundi, Evariste Ndayishimiye, era nga ye ssentebe w’omukago gwa Africa ogwa African Union, yebazizza president Museveni olw’okukwasizaako eggwanga lya Burundi mu kukuuma emirembe n’okuba neekirooto ekiyambako amawanga ga Africa okulakulana.
Abakulembeze b’amawanga agawerako betabye ku mukolo guno.
Mu kusooka wabaddewo okukwasa President Museveni ebiggumiza obuyinza bwe, omuli ssemateeka w,eggwanga, bendera y’eggwanga neeya president, obubonero bw’eggwanga, saako ebitiibwa by’amaggye eby’okukuuma eggwanga ebimukwasiddwa omuduumizi wa UPDF era mutabani we Gen Kaminerugaba Muhoozi.
Wabaddewo n’okumukubira emizinga egiweredde ddala 21.
Okukubisa president Museveni ebirayiro kukoleddwa kukulembeddwamu Ssaabalamuzi Dr. Flavian Nzeija.
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Justice Simon Byabakama asoose kukakasa nti Museveni yeyawangula akalulu akaakubwa nga 15 January,2026.
President abadde awerekeddwako muwalawe Natasha Karugire.
Ku mukolo guno kubaddeko okwolesa ebintu ebyenjawulo okuli abajaasi okukumba nga boolesa obukodyo obwenjawulo, eby’okulwanyisa ebyokuttaka ne mu bbanga, ennyonyi okwebongera mu bwengula,n’ebirala nga bikulembeddwamu Brig.Gen John Bosco Asiguza naamumyukibwa Col.Stuart Agaba.