Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alambudde egombolola ya Ssaabawaali Bukoto mu Buddu, eri abefubyeko okulwanyisa obwavu nga bayita mu bulimi n’obulunzi awamu n’okuteekateeka amaka gabwe obulungi agawa eky’okulabirako eri abalala mu nkola eya Situla Omutindo.
Amaka agalambuddwa mulimu agalima emmwanyi, abalunda ente mu biyumba, saako amaka agawa ekifaananyi ekirungi mu ndabika, galina kabuyonjo, akatandaalo, emmere ey’okulya n’okutunda.

Awadde abavubuka amagezi okufuba okukola ennyo nga bakyali bato,baleme kujjukira kwebikka ng’obudde bukedde.
Obwakabaka bwagala abavubuka naddala abakolera mu bibuga ewafunda,okukola enteekateeka y’okusenguka basobole okugaziya emirimu.
Okwogera bino abadde ku kyalo Lufumba ekisangibwa mu gombolola ya Ssabawaali Bukoto mu Buddu, mu Maka g’Omulimi w’emmwanyi Julius Mwebe.
Katikkiro era abavubuka abagambye nti abeetaaga okukulaakulana, bazibuke amaaso banoonyeze emikisa mu bifo ebigazi.
Agambye nti ekiviirako abantu abamu okwekubagiza olutaggwa, kwekwesiba ku kintu ekimu ne mu bifo ebigunda, sso nga ebitundu bingi ebijjuddemu emikisa gy’enkulaakulana.
Awo abadde mu Maka ga Hajjat Akiiki Kasujja ku kyalo Kabonera B mu kulambula amaka amalungi, naasaba Obuligo bulwanyisibwe mu Maka,nga ababulina balabira ku batabulina.

Mu mbeera yeemu Katikkiro asinzidde mu Maka g’Omulimi w’emmwaanyi Patrick Sseremba n’Omukyala ku kyaalo Kabonera, naalabula abavubuka abalimi aberwanyeeko, u mitawaana gyeboolekedde ssinga balemererwa okuwasa ng’obudde bukyaali, ensimbi zebafunye mu mmaanyi nebazimalira mu kucakala.
Minister wa Bulungibwansi n’Obutondebwensi Owek Hajjati Mariam Mayanja Nnassejje, asabye Abaami n’Abakyaala okukolera awamu okusitula Omutindo gw’Amaka ,nga tebafudde ku bunene bwa Nyumba zokka.
Patrick Sseremba Omulimi w’Emwaanyi,yebazizza Obwakabaka bwa Buganda olw’entekateeka z’Obwakabaka eziggya abantu mu Bwavu, n’okubakuumira mu bibiina by’obwegassi n’okuwaηηana amagezi.
Katikkiro ku bugenyi buno awerekeddwako minister w’Abavubuka eby’Emizannyo n’Ebitone Owek Robert Sserwanga Ssalongo, minister w’enkulaakulana Ebyobulamu nebyenjigiriza kko ne wofiisi ya Nnaabagereka Owek Chotilda Nakate Kikomeko,minister w’Ebyobulimi Obulunzi n’Obweegassi Owek Hajji Amiisi Kakomo, n’Abakungu mu kitongole ky’Ebyobulimi ki Bucadef, abasuubuzi mu Kibuga Masaka n’Abasuubuzi abenjawulo mu Masaka.
Bidakiddwa: Kato Denis













