Abantu abasoba mu 7 bebaggyeyo empapula ku kitebe ky’ekibiina kya NUP, nga bagala baweebwe kaadi y’ekibiina okuvuganya ku kifo ky’okuddamu okulonda omubaka omukyala owe Kalangala.
Ekifo kino kyalimu Hellen Nakimuli eyali owa NUP, yafa nga 19 April,2026 nga yali alindiridde kulayira ku kifo kino.
Akakiiko k’ebyokulonda mu kibiina kino ekya NUP kamalirizza okukwata empapula za beegwanyiza ekifo kino.
Abamu ku bagyeyo empapula kwekuli Irene Nampala muganda w’omugenzi Hellen Nakimuli.
Abalala ye Nakitende Maria,Nassiwa Jesca,Naluggya Betty n’abalala, era nga bano bakutandiika okusuunsulibwa ku Saturday nga 16 May,2026 mu lukuηaana lw’okukubaganya ebirowoozo, n’okwekenneenya obusobozi bwabwe.
Akulira eby’okulonda mu Buganda mu kibiina kya NUP Johnmary Ssebuufu, alabudde abegwanyiza ekifo kino okwewala banna kigwanyizi mu kitundu abaabaggyako ensimbi nti kaadi ya NUP etundibwa, agambye nti ababunyisa enjiri eno bagezaako kuttatana kibiina.#











