Ekeleziya Katulika mu Uganda efunye Omubaka wa paapa omuggya, Tomasz Crysa.
Omutukuvu Ppaapa Leo XIV , alonze Ssaabasumba Tomasz Grysa okubeera omubaka wa Paapa mu Uganda, okudda mu bigere bya Ssaabasumba Luigi Bianco gweyakyusa omwaka oguwedde 2025.
Ssaabasumba Tomasz Grysa abadde mubaka wa paapa mu mawanga okuli Madagascar, Seychelles, Mauritius ne Comoros.
Omwepisikoopi Tomasz Grysa Munansi wa Poland, yazaalibwa nga 16 October 1970 ,nayawulibwa ng’omusaseredooti nga 15 Muzigo (May) 1995.
Ssaabasumba Tomasz Grysa alina Doctrate mu mateeka g’Ekeleziya,ng’Obuweereza e Vatican mu Roma yabutandika nga 1July, 2001 era awerezza mu bifo ebyenjawulo ku mirimu gy’ekelezia.
Ssabawandiisi w’olukiiko lwa basumba b’Ekeleziya Munsenyooli Johnbaptist Kawuta ategezeezza nti basanyufu nnyo olwa Ppaapa okubaweereza Omubaka omuggya, gwebagenda okukolagana okuweereza emirimu gy’Ekelezia.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius













