Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yeeyanzizza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, olw’okumukkiririzaamu naamwesiga naamukwasa Ddamula amulamulireko Obuganda kati emyaka 13 beddu
Ssaabasajja Kabaka yasiima naayatula erinnya lya Charles Peter Mayiga nga 12 May,2013 era naamukwasa Ddamula, ku mukolo ogwayindira mu Lubiri e Mengo.
Katikkiro agabudde abagenyi be ku kyemisana ky’Okujjukirirako emyaka 13 ng’akutte Ddamula, kibadde mu Butikkiro.

Agambye nti Obuvunaanyizibwa Beene bweyamuwa akyabukwasizza Maanyi, nga ali bumu n’Abaweereza beyamuwa.
Katikkiro annyonnyodde ku bimu ku bintu ebikyali mu nteekateeka Nnamulanda ey’Obwakabaka ebikyetaaga okuggusa mulimu Ennyanja ya Kabaka n’Okukulaakulanya Olubiri lw’e Mengo.

Ssaabalabirizi w’Ekkanisa y’Abadiventi Dr. Samuel Kajoba y’abadde omwogezi ow’enjawulo ku mukolo guno, era aliko ebintu ebyenjawulo byattottodde, ebyo Katonda byasobozesezza Katikkiro okukola mu buweereza bwe.
Amutenderezza;
-Olw’okukuuma Ekitiibwa kya Buganda
-Okutumbula obuwangwa n’ennono bya Buganda
-Okunyweza empagi y’obumu mu bantu ba Kabaka Okutuuka wansi ku muntu wa Kabaka asookerwako
-Okugumiikiriza ebimusoomooza
-Okubeera omuvumu mu mbeera “enzibu”
-Okusitula embeera z’abantu ba Kabaka mu by’enfuna n’afuba okulaba nga tebadaaga
Okukulembeza obwerufu
-Okugatta abavubuka ku bakadde n’abakadde ku bavubuka
Ebyoto
-Ebyenjigiriza
Eby’empuliziganya
-Okunyweza enkolagana ya Buganda ne government ya Uganda
-Eby’obulimi
-Eby’obulamu n’ebirala.
Owek Mathias Mpuuga Nsamba yebazizza Ssaabasajja Kabaka olwokusiima naawa Katikkiro Obuvunaanyizibwa bw’Okumulamulirako, Omulimu ogutali mwangu.
Akulira oludda oluvuganya government mu parliament Joel Ssennyonyi yebazizza Katikkiro, olw’okwogera nga ku nsonga ezinyiga bannansi naddala Banna byabufuzi abanyigirizibwa.

Omukolo guno gwetabiddwako Abalangira n’Abambejja, ba Nnaalinnya, ba Katikkiro abaawummula okubadde Owek Joseph Mulwaanyammuli Ssemoogerere,Owek Emmanuel Ssendawula, eyaliko Omumyuuka w’Omukulembeze w’Eggwanga e Edward Ssekandi, Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka Namwaama Augustine Kizito Mutumba,ba minister mu government eya Wakati ,ba minister ba Ssaabasajja Kabaka,Abaami b’Amasaza,ba ssenkulu b’Ebitongole by’Obwakabaka n’Abantu abalala bangi.
Bisakiddwa: Kato Denis












