Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yasiima nakwasa Owekitiibwa Charles Peter Mayiga Ddamula, nga 12 May, 2013 okumulamulirako Obuganda.
Mu kwefumiitiriza ku myaka gino 13, Katikkiro agambye nti emyaka gino agiyigiddemu ebintu nkumu, abantu b’Omutanda, bamuwuliriddemu, era nebakyuusa Obulamu bwabwe n’Obwakabaka bwa Buganda.
Eby’enkizo ebituukiddwako;
-Okulima Emwaanyi mu Buganda ne Uganda yonna kweyongedde
-Okutondawo ebitongole ebiwa abavubuka emirimu mu Bwakabaka kulinnye
-Amasiro g’e Kasubi gaawedde oluvannyuma lw’Emyaka 14 lwegaakwata omuliro.
-Okutereeza enzirukanya y’emirimu
-Okweyongera mu buyiiya n’ekiruubirirwa ky’okufuna ensimbi (Luwalo lwaffe)
-Okwongera embavu mu Lukiiko lwa Buganda.
-Okutuusa obuweereza ku bantu ba Kabaka mu by’obulamu, Ebyobusuubuzi,Ebyenjigiriza, Ebyempuliziganya n’ebirala.
-Okusoosowaza ensonga z’obuwangwa
-Olulimi Oluganda lwongedde okutinta
-Okusembeza abavubuka ne bannabitone
-Okutumbula eby’emizannyo
-Okunyweza obumu ,
-Okusitula Omutindo mu byonna ebikolebwa
Katikkiro ategeezezza nti Obwakabaka bwongedde okunyweeza enkolagana yaabwo ne government eyawakati mu kutumbula ebyobulamu, nga essira lissiddwa nnyo mu kulwanyisa Okusasaana kwa Mukenenya ssaabasajja nga yakutte Omumuli.
Katikkiro Mayiga akinogaanyizza nti enteekateeka Namulanda ey’Okukulaakulanya Olubiri lw’e Mengo ekyagenda mu Maaso, nga eno Ssaabasajja Kabaka kennyini yaagirinako Obuvunaanyizibwa obw’enkomeredde.
Ebisoomooza;
Katikkiro agamba nti ekintu ekikyasiinze okumusoomooza ky’ekiseera Ssaabasajja Kabaka lweyagwiira obulwadde nebumuyisa bubi nnyo, wabula yebaza Katonda nti wadde Nnyinimu akyalondoolwa abasawo, nti naye kati embeeraye ezzaamu essuubi.
Owomumbuga mu ngeri eyenjawulo era ategeezezza nti akyasomoozeddwa embeera y’Ebiragalalagala ebisasaanidde abavubuka, ekikyaali Omuziziko mu kulwanyisa okusasaana kwa Mukenenya mu Uganda, naasaba abavubuka beddeko beewale ebitamiiza.
Bwabuuziddwa ku ntekateeka y’Obwakabaka ay’Okusitula bannabyaabufuzi bamusaayi muto abategeera ensonga za Buganda era abayinza okuzirwanirira, katikiro agambye nti nga Obuganda buyita mu bibiina by’Obukulembeze ebiwerako, bulina abavubuka bangi abategeera ebyobufuzi, era nga beesigwa eri Obwakabaka era ekyo kikoleddwako ddala.#











