Emikolo gyókutikkira abayizi ba Makerere University ku lunaku olwókubiri, abayizi okuva ku bbanguliro ly’abakuguse mu byobulimi, abasomesa, nabakuguse mu bya science w’obutonde bw’ensi bebatikiddwa.
Omuyizi Nuwagira Albert olwaleero lwakwasiddwa ekirabo, eky’omuyizi akize banne mu masomo ga science omwaka guno.Yafunye obubonero 4.82 ku bubonero 5 obusingayo mu kusoma kwa University.
Nuwagira akuguse mu Technology ne science w’emmere.
Nuwagira Aweereddwa engule ey’omwaka 2022 n’akakadde ka shilling kamu ng’entandikwa, okumusobozesa okubaako kyeyetandikirawo.
Bisakiddwa:Ddungu Davis