Omuyimbi Prince Paul Job Kafeero yava mu bulamu bwensi mu mwaka gwa 2007 naziikibwa e Nkokonjeru e Buikwe mu Ssaza Kyaggwe
Waabalukawo obutakkaanya mu bamu ku baana b’omugenzi abagambibwa okuba nga bawera 20, ng’abamu balangira bannabwe nti ssi baana ba Kafeero.
Abadde Minister w’abaana n’abavubuka era ng’abadde alondoola ensonga zino, nga kati yalondeddwa ku okubeera minister wa government ez’ebitundu, Balamu Barugahare ategeezzezza CBS nti enteekateeka yokusimulayo omugenzi Paul Kafeero yakkiriziganyiddwako aba famire era nabafunira ssente n’obuyambi bwonna obwetagisizza, saako okugoberera amateeka okusimulayo ebisigalira bya Paul Job Kafeero baggyeko obutaffaali bwebagenda okukebeza mu nteekateeka eno.
Minister Balamu agamba nti kino kikoleddwa mu kawefube gwaliko okumalawo obutakkaanya mu famire y’omugenzi Kafeero, n’abaana abagambibwa nti sibabwe bakakase obuzaale bwabwe.
Wabula, abamu ku Bannamateeka b’abantu abaakwasibwa obuvunaanyizibwa obulabirira ebintu by’omugenzi bs Administrators ba estate y’Omugenzi omuyimbi Prince Paul Job Kafeero bagamba nti enteekateeka egenda mu maaso kati bbo tebaajjikiriziganyaako.
Munnamateeka Derick Namakajo agamba nti enteekateeka yonna egenda mu maaso abamu ku baana bomugenzi tebagimanyiiko wadde era nti ekolebwa mu bumenyi bwamateeka
Agambye nti waliwo abaana abaagenda mu kkooti okusaba okuziikula ebisigalira by’omungenzi nti okwekekebejja endaga luselwe, wabula kkooti yagaana okusaba kwabwe, wano webeebulizza ate abali mu kuziikula ebisigalira by’omugenzi ate gyebaggye obuyinza obwo.
Paul Job Kafeero yayimba ennyimba nnyingi ddala, era nga n’okutuusa kati abantu bakyazitendereza olw’ebinyusi ebizirimu, omuli ezikwata ku Buwangwa, Ebyafaayo, Omukwano, Ezibuulirira n’ebirala.













