Bya Issah Kimbugwe
Club ya AS Kigali egucangira mu liigi ya babinywera eya Rwanda egobye abadde mutendesi waayo munayuganda Mike Hilary Mutebi ku mulimu guno, ng’ajikoledde emyezi esatu gyokka.
Mike Mutebi ku mulimu guno agobeddwa n’omumyukawe era munayuganda Jackson Mayanja Miya Miya, lwakulemwa kusitula mutindo gwa tiimu.
Mike Mutebi ne munne Jackson Mayanja baakwasibwa omulimu gw’okutendeka tiimu eno eya AS Kigali mu January wómwaka guno 2022.
Endagaano gyebaakola ebadde yakumala emyaka ebiri.
AS Kigali eri mu kifo kya 5 nóbubonero 37 okuva mu mipiira 25.
Club ya Kiyovu ekulembedde liigi eno abasingako obubonero 13.
Mike Mutebi okugenda e Rwanda yali awumudde omupiira okumala ekiseera nga talina club gy’atendeka.
Yali yasembayo kutendeka club ya KCCA gyeyaleka akoledde ebyafaayo, ng’omutendesi akyasinze okugiwangulira ebikopo ebingi.