Omusujja gw’ensiri gwebusinze okutawaanya abatuuze mu district y’eKalungu mu myezi esatu egiyise, era Banna-Kalungu 410 b’ebagenze mu malwaliro okufuna obujjanjabi olwomusujja guno.
Bino bibadde mu alipoota esomeddwa amyuuka akulira ebyobulamu e Kalungu Musawo Dabuliwo Musa asinzidde mu kakiiko ka district eno akalondoola ebyenjigiriza n’ebyobulamu, ekikula ky’abantu, ebyobusuubuzi n’obugagga obwensibo.
Ba kkansala abatuula ku kakiiko kano babadde bakuba ttooki saako okwekeneenya report z’ebitongole bya district y’eKalungu ebigwa mu kakiiko kano.
Amyuuka atwala ebyobulamu e Kalungu Dabuliwo Musa anokoddeyo endwadde mukaaga ezisinze okutwala Banna-Kalungu mu malwaliro okwekebejjebwa n’okufuna obujjanjabi mu myezi esatu egiyise, nga ku ndwadde zino abantu 410 babadde b’amusujja gwa nsiri nga by’ebitundu 10 ku buli 100.
Endwadde z’omusaayi kiyite infection zikutte ky’akubiri nga zino abatuuze 132 bebagenze mu malwaliro okwekebejjebwa nga bakola ebitundu bisatu ku buli 100, ate obulwadde bwa Alcer bukutte ky’akusatu n’abatuuze 128 abagenze mu malwaliro, obulwadde buno busibaganye n’abaana abawere abali wansi w’ennaku 28 nabo abatwaliddwa mu malwaliro okufuna obujjanjabi.
Obulwadde obulala obututte ennyo Banna-Kalungu mu malwaliro mu myezi esatu egiyise mubadde obulwadde bw’amawuggwe nga abantu 120 bebagenze mu malwaliro saako abakyala 91 nabwo bagenze mu malwaliro ng’obulwadde obubaluma bw’ekuuusa ku mbuto ezivuddemu.
Dabuliwo Musa asabye Banna-Kalungu okweyunira amalwaliro bafuneyo obujjanjabi, so nga n’ensonga ya ba mulerwa abasusse e Kalungu nayo eyogeddwako mu lukiiko luno, saako okugaziya eddwaliro lya Kigaaju Health centre II e Lwabenge.
Ensonga endala ezikooneddwaako mu lukiiko luno mubaddemu ekizibu ky’ennyumba z’abasomesa ekiyitiridde e Kalungu.
Akulira ebyenjigiriza e Kalungu Nakanwagi Sylivia Grace agambye nti bakyasomoozebwa ekizibu kino nga kiviiriddeko n’abasomesa abamu obutayagala kusindikibwa ku masomoero agenjawulo olwobutabaayo nnyumba mwebasula.
Kwaba Rashid kkansala akiikirira town council y’eKalungu asinzidde mu kakiiko kano n’agamba nti ku kizibu ky’ebbula ly’ennyumba z’abasomesa bwotuuka mu town council y’eKalungu gujabagira, obusente obutono abasomesa bwebafuna ate buggweera mu kupangisa nju, n’asaba government erowooze nnyo ku nsonga eno.
Bisakiddwa: Nsubuga Muzafaru












