Kkooti y’amagye esalidde omusirikale w’eggye erikuuma President wa Uganda erya SFC, ekibonerezo kyakuwanikibwa ku kalabba oluvanyuma lwokusingisibwa omusango gw’okutta ab’oluganda 5 mu district ye Mayuge.
Akulira Kkooti eno etudde e Mayuge Lt. Col Moses Nabasa asindise Pt. Herbertson Birivumbuka ku kalabba, oluvanyuma lw’okukkiriza nti ye yatta ab’oluganda 5 beyasanga mu nnyumba ya Isaac Isabirye Mudhasi mu June, 2024.
Okusinziira ku biwandiiko bya kkooti, Pt. Birivumbuka yakkiriza nti yeyatta abantu abo, oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya olw’enkaayana z’ettaka.
Lt. Col. Moses Nabasa agambye nti ekibonerezo ekiwereddwa Birivumbuka, kyakutangira abasirikale abalala okuddamu okwenyigira mu bikolwa nga bino eby’okukozesa obubi emmundu.#
Bisakiddwa: Lukenge Sharif