Abantu b’Obusinga bwa Rwenzururu bakulwawo okulaba ku Musinga Irema-ngoma Charles Wesley Mumbere ng’azzeeyo mu Businga bwe, wadde nga babadde bamaze emyaka 7 nga tebamulabako.
Makasi Alfred akolanga ssaabawolereza w’Obusinga bwa Rwenzururu agambye nti okudda kw’Omusinga wa Rwanzururu kukyalimu emigozoobano, ng’abantu be balina okulinda emyezi emirala ebiri n’okusoba.
Makasi Alfred agambye nti kisuubirwa nti omusinga Alina okusooka okusisinkana omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museven okubaako byebakanyaako.
Omusinga yakwatibwa mu mwaka gwa 2016, abebyokwerinda bwebaalumba olubiri lwe ,nga balumiriza nti mwali mwekwekamu abamenyi bamateeka abasekeeterera government.
Abantu abasoba 100 bebagambibwa okuba nti bebaafiira mu bulumbaganyi buno.
Omusinga yaggulwako emisango omuli okulya munsi olukwe,obutujju, obuttemu n’emirala, wabula kooti n’emuyimbula ku kakalu kaayo ng’emutaddeko akakwakkulizo k’obutetaayiza mu Businga bw.
Abadde akkirizibwa kubeera mu Kampala ne Wakiso mwokka.
Gyebuvuddeko government yaggya emisango ku Musinga Charles Wesley Mumbere n’abasajja be abasoba mu 200.
Abasajja be bonna baayimbuddwa era nebazibwayo mu Rwenzururu, ng’oggyeko Katikkiro we n’omukuumi omulala abakyawerennemba n’emisango#