Akeetalo keyongedde mu Businga bwa Rwenzuururu nga balindirira Omusinga Charles Wesley Mumbere okudda mu Bukama bwe oluvannyuma lw’emyaka 7.
Omusinga asuubirwa okudda ku butaka nga 04 October,2023.
Nga 19 October gy’emikolo gy’amatikkira ge.
Minister Omubeezi ow’amawulire ne technology era nga yomu kubali ku lukiiko oluteesiteesi olw`okwaniriiza Omusinga, Godfrey Kabyanga, agamba nti balina ebintu bingi byebalina okukolako, naddala okuzzaawo olubiri lwonna olwali lwafuuka amatongo.
Minister Kabyanga ategeezezza nti mu kusooka baali baabaalirira obuwumbi bwa shs 9 obw`okwaniriiza omusinga n`okudabiriiza ebintu byonna ebyayonoonebwa mu Businga,wabula baafunyeyo hotel yabuwumbi 5 e Kasese gyebaagala okugulira omusinga ng’Ekirabo.
Emyaka giweze 7 bukyanga magye ga Uganda galumba olubiri lw’Omusinga mu November 2016 nerugasaanyaawo, abantu abasoba 100 battibwa, Omusinga Wesley Mumbeere n’abantu abasoba mu 200 baakwatibwa n’abaggulwako emisango gy’obutujju,obutemu,okusekeeterera government n’emirala.
Okuva olwo Omusinga abadde awerenemba mu kooti nga yagaanibwa okudda mu Businga, nga tasukka district ye Wakiso ne Kampala.
Gyebuvuddeko government yatuuka ku ntegeragana n’Omusinga, abantu abaali bakyali mu komera nebayimbulwa nebadda ku butaka, n’Omusinga n’akkirizibwa okuddaamu okwetaaya mu bantu be mu Businga bwa Rwenzuruuru.
Bisakiddwa: Musisi John