Ekibiina kya Democratic Party kitandiise ku ntekateeka ezigenda okukyuusa obukulembeze bwakyo,oluvanyuma lw’ekisanja kya Nobert Mao omukulembeze w’ekibiina ekyo okugwaako
Okusinziira ku bakulembeze b’ekibiina kino, okulonda kugenda kutandikira ku bukulembeze bwa byalo,era omwaka guno ekibiina kigenda mu kalulu.
Mu lukungaana lwa bannamawulire olutudde olutudde ku kitebe kya Dp mu Kampala, omwogezi w’ekibiina kino Ismail Kirya agambye nti bamaze okulangirira emitendera gyonna egyigenda okugobererwa mu kukyuusa obuyinza bw’ekibiina nga atewandiise tageza natataganya ebigenda mu maaso
Kirya agambye nti ekibiina kizze kitegeka okulonda naye nga bangi gyebigweera bagamba baasibiddwa ebweru kwekulangirira entekateeka eno nga bukyaali.
Mungeri yemu ekibiina kya Dp kikungubagidde eyabadde omubaka wa Kawempe North Ssegirinya Muhammad eyazikidwa ku nkomerero ya sabiiti ewedde e Masaka
Wabula Dp ewanjagidde oludda oluvuganya government okukomya ebyobufuzi eby’obukyaayi ebyavuddeko okutaataganya okuziika Ssegiriinya.#
Bisakiddwa: Lukenge Sharif