Nnaabagereka Sylvia Nagginda yekokkodde ebiragalalagala ebyeyongedde mu bavubuka, byayogeddeko ng`ebigenda okusanyaawo omulembe ogujja singa tewabaawo kikolebwa mu bwangu.
Nnaabagereka agamba nti kanno kekadde buli akwatibwako Kunsonga eno afungize, nga yetaba buterevu mu lutalo lw`okulwanyisa ebiragalalagala.

Nnaabagereka bino abyogeredde ku mbuga y’e Kisaakaate ky`omwaka guno 2025, ekiri mu kubumbujjira ku ssomero lya Janaan Secondary School Bombo.

Nnaabagereka era agambye nti munaku zino ekisaakaate zekyakatambulako, abasaakaate bayayaanye okumanya okumanya olulimi, ennono n`obuwangwa bwabwe.
Kalungi Fred Kabuye okuva mu kitongole ekiruηamya omutindo gw’eddagala mu ggwanga ekya National Drug Authority, agambye nti abaana b’omulundi guno babasanyudde, kubanga bayayanye nnyo okumanya ebikwata ku biragalalagala.

Omukungu Kironde Micheal Omutandisi w’amasomero ga Janaan Schools, yeyanzizza omukisa ogwamuweebwa okutegeka ekisaakaate ky`omwaka guno 2025, era nagamba nti talina kubuusabuusa abaana bonna bakiganyuddwamu.
Bisakiddwa: Musisi Johhn