Ekikangabwa kigudde mu katundu akamanyiddwa nga Njeru ku Nile okulinaana ekitebe kya Njeru central Division mu munisipaali ey’e Njeru mu district y’eBuikwe, ekikyuma ekigambibwa ndi yandiba bbomu bwe kibwatuse nekikuba abasajja 3 abookya ebyuma, 2 bafiiriddewo omulala ali mu mbeera mbi.
Abafudde ye Tumwebaze Emmanuel 35 ne Yakubu Pande myaka nga 32.
Omu ku babadde mu kifo kino ng’enjega eno egwawo, Mukwana Ronald agambye nti abafudde babadde bakatandika okusala mu kyuma ekyo, akaseera mpawekaaga nekitulika nekibakuba.
Ab’ebyowerinda bayitiddwa okwekebejja ekyuma kino.
Omwogezi wa police mu kitundu ekya Ssezibwa Helen Butoto agambye nti Tumwebaze Emmanuel yaaleese ekyuma ekyo, kyokka nga tamanyi kika kyakyo kwe kukiwa munne Yakubu Pande batandika okukisalamu okukakana nga kitulise era nekibattirawo.
Emirambo gy’abagenzi gyitwaliddwa mu ddwaliro eJinja, ate Magogo David alumizidswa addusiddwa mu ddwaliro lya Njeru Medical center.
Bisakiddwa: Ssebwami Denis