Police mu Kampala n’emirirano eri ku muyiggo gw’ababbi 3 abalumbye edduuka lya mobile money mu bitundu bye Kanyanya mu gombolola ye Kawempe mu Kampala.
Kigambibwa nti ababbi bano babadde n’emmundu kika kya Bbasitoola nebateeka abasangiddwamu ku mudumu gw’emmundu, nebanyaga ensimbi n’ebintu ebirala.
Byabaddewo ku ssaawa nga 4 mu kiro ekikeseza olwaleero nga 13 January,2025 nga balina basitola, ne banyaga amadduka omubadde erya Kaluhanga David ne Tayebwa Buluno owa mobile money,batutte million ezisoba mu bukadde 3, essimu ne bintu ebirala.
Okusinzira ku police egamba nti abanyaguluzi bano batadde Karuhanga ne Buruno ku muddumu gw’emmundu olwo ne bayoola ssente zonna ezibadde mu dduuka ne bakulitta nazo omuli nokubalumya.
Omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango agambye nti ababbi bano bakubye amasasi agalumizza abantu, era police egenze okutuuka nga baagenze dda.
Patrick Onyago abadde mu nsisinkano ne banamawulire ku Kitebe Kya police e Nagguru, naasaba abantu abayinza okuba n’amawulire gonna agasingawo ku bulumbaganyi buno.