President Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa asabye abakulembeeze mu Amawanga ga Africa okussa essira ku bulimi olw’omutindo obuvaamu ensimbi okulwanyisa obwavu n’okutumbula enkulaakulana mu Africa.
Museveni ategezezza nti Abafuzi bamatwale baamala ebbanga ddene nga bakuumidde abaddugavu ku kukolerera emmere ya leero, ate bbo nebatwala eby’obugagga omwali Pamba , Emwaanyi,Taaba nebirala ekyaviraako Africa okusigalila.
Gen. Yoweri Kaguta Museveni abadde Munyonyo mu Lukungaana lw’abakulembeeze b’amawanga ga Africa olutuumiddwa Comprehensive Africa Agriculture Development Program olugendereddwaamu okukubaganya ebirowooza ku ngeri y’okwongera ku bungi bwe mmere mu Africa.
President Museveni ategeezezza nti okuva government ye lweyatandika okusomesa bannauganda okulima n’okwongera omutindo ku bintu, embeera z’abantu n’ennyingiza y’ensimbi bikyuse nnyo.
President Museven agambye nti okusoomozebwa mu balimi kukyali kungi omuli obutale ,ensigo ezitali za mutindo, n’ebirala , kwekusaba bakulembeze banne balabe engeri gyebanogeramu obuzibu buno eddagala.
Mousa Faki ssentebe wa African Union Commission ategeezezza nti Africa erina ettaka n’omuwendo gw’abavubuka mungi ,wabula kyewunyisa ate nga waliwo ebitundu ebitawanyiizibwa enjala ,kwekusaba abakulembeze mu Africa okubaako kyebakola.
Olukungaana lwetabidwamu abakulembeeze ba mawanga ga Africa abawera.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius