Munnamagye Captain Denis Olaa agattiddwa ku misango egivunaanibwa munna FDC ekiwayi kye Katonga, Dr Kiiza Besigye ne Haj Obeid Lutale egy’okusangibwa n’emmundu n’okutuuza enkiiko ezitali mu mateeka.
Bannamateeka ba Besigye basabye kooti y’amagye esooke ewulirize okusaba kwabwe kwebasaayo nga bawakanya Dr Besigye ne Lutale okuwozesebwa mu kkooti y’amagye ng’ate bantu ba bulijji, n’okuba nti ababiri bano baakwatibwa mu bukyaamu.
Mu kiseera kino file y’omusango gwa Besigye kati eriko abantu 3.
Wabula Besigye ne bannamateeka babwe bakalambidde nti tebasobola kweyongerayo nga tebanawulirizibwa ku nsonga yabwe ey’okuwakanya kkooti eno.
Ssentebe wa kooti y’amagye Brig.Robert Freeman Mugabe ayongezaayo omusango guno okutuusa enkya nga 14 January,2025, lwenaasalawo ekiddako.#