Omusibe Omu yattiddwa abaserikale b’Ekitongole ky’Amakomera mu ggwanga, oluvannyuma lw’Okugezaako okutolokera mu biseera by’ennaku enkulu ez’amazaalibwa ga Kristu, n’okumalako omwaka.
Omugenzi ye Ronald Turyamureeba wa myaka 26, yakubwa Amasasi agaamuggya mu budde mu komera lye Fort Portal ekkulu, bweyali agezaako Okutoloka.
Abasibe 4 bebaagezezzaako Okutoloka mu makomera okuli Iganga, Dokolo ne Murchison Bay.
Omwogezi w’Ekitongole ky’Amakomera Frank Baine ategeezezza nti okutwaliza awamu embeera mu makomera tebadde ya bunkenke nnyo, olw’Ebyokwerinda ebinyweevu ebyassibwawo era.ebyabayambye okutebuka abasibe abaabadde batoloka.#