Entiisa ebuutidde abatuuze ku Kyalo Kaabuuma mu Gombolola ye Masajja mu Wakiso, amazzi g’omugga Mayanja bwegatutte emmotoka ebaddemu abantu basatu era omu afiiriddemu.
Omugga aguwaguzza amazzi negayanjalira mu luguudo wakati gwe ogumanyidwa nga Kaliddubi ,nga guno gweguututte emmotoka ebaddemu abantu abasatu
ssentebe kaabuuma Masajja Division Mwanje Meddie agambye nti buli nkuba lwetonnya omugga guno ogwa Kaliddubi gutwala abantu, nga wetaaga wabwewo ekikolebwa.
Ssentebe anyonyodde nti abatuuze bebasobodde okutaasa ababiri, owokusatu naababula era n’omulambo gwe tegunalabika.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif








