Amyuka sipiika wa parliament Thomas Tayebwa alabudde ba ssentebe bobukiiko bwa parliament abaggya okwewala okukola emirimu mu ngeri yagaddibe ngalye, eyinza okulowoozesa bannansi nti beenyigira mu bikolwa ebyobulyi bw’enguzi.
Abadde aggalawo okubangula kwaba ssentebe b’obukiiko buno abaggya, okubadde ku parliament, n’abawaba nti bakozese obukugu mu nkola yaabwe ey’emirimu, obwerufu nokwewala okukukuta n’abakozi ba government nti buli kimu bakikole mu lwatu ensi emanye ebigenda mu maaso.
Okubangula kuno kwetabiddwamu omuwandiisi omukulu ow’olukiiko era avunanyizibwa ku kakiiko akavunanyizibwa ku bakozi ba government Lucy Nakyobe,.
Tayebwa anenyezza essiga erifuga eggwanga lino olw’okutuulira alipoota parliament zeekola eziva mu kunonyereza ku nsaasaanya y’ensimbi z’omuwi w’omusulo netazisza mu nkola, omuli okukwata abalidde ensimbi z’omuwi w’omusolo, olwo olukongoolo bannansi nebaluteeka ku parliament nti tekola.
Obubaka bwa Thomas Tayebwa bujjidde mu kiseera nga waliwo alipoota ezizze ziwulirwa nti mu parliament wafumbekeddeyo ebikolwa eby’obulyi bw’enguzi, nga nabamu ku babaka bali mu nkomyo ku misango gyegimu.
Mu nsisisinkano eno, Tayebwa ayatulidde n’abamu ku babaka abeegulidde erinnya ensangi zino nti beebogera ku buli bwenguzi bwebagamba nti bujjudde mu parliament.
Agambye nti n’abamu ku babaka tebakola mirimu gya parliament omuli okwetaba mu ntuula z!obukiiko n’entuula za parliament wabula bwekituuka ku kusaba ensimbi okugenda okutambula ate bebasooka.#