Emmanuel Bunkeddeko Omumegganyi wa w’Entanda ya Buganda eweerezebwa ku CBS buli mwaka omuva Omuzira mu bazira, yoomu ku bayizi abatandise ebigezo bya S.6 eby’akamalirizo eby’omwaka guno 2024.
Bunkeddeko ow’emyaka 41 egy’obukulu ebigezo bye abituulidde ku Pride Secondary School Mityana gy’asomedde emyaka ebiri, era nga muvuzi wa bodaboda ku Katunda Stage mu kibuga Mityana.
Amasomo gakola kuliko olulimi oluganda, Entrepreneurship ne Art.
Emmanuel Bunkeddeko agamba nti oluvannyuma lw’okwetaba mu Ntnada ya Buganda 2013 yali afunye omukisa okufuna omulimu mu bitongole by’Obwakabaka bwa Buganda, wabula omulimu gweyali afunye yali yetaagibwa okuba ng’alina wakiri ebbaluwa ya S.4, wabula nga mu kiseera ekyo ne’eya P.7 yali tagifunangako.
Agamba nti kino kyali kyakusoomozebwa kinene gyali eky’okusubwa omulimu olw’obutasoma, era ekyamumalako emirembe okumala emyaka esatu.
Bunkeddeko ajjukira bulungi omwaka gwa 1998 bweyalemererwa okukola ebigezo bya P.7 olw’okubulwa shs 9500/= zeyalina okusasula okwewandiisa okukola ebigezo bya UNEB.
Mu mwaka 2017 yasalawo okuddayo okusoma P.7 era n’atuula ebibuuzo eby’akamalirizo omwaka ogwo 2017 ku Butega Primary School n’abiyita era neyeyongerayo mu secondary neyegatta ku Glory High School Mityana era omuggalo gw’ekirewadde kya Covid 19 gyegwamusanga negutaataaganyamu eby’okusoma kwe.
Omu kubasomesa ba Emmanuel Bunkeddeko ku Pride Secondary School Mityana Ann Atuhairwe amwogeddeko ng’pmusajja ow’empisa era eyebuuza buli wabadde asaanga obuzibu mu kusoma kwe, kyebasuubira nti kyakumuyamba okuyita obulungi ebigezo bye ebya S.6.
Bunkeddeko ku myaka 41 egy’obukulu ayagala kweyongerayo n’emisomo gye, afuuke Omusomesa.
Muzadde alina abaana 3 era bonna basoma mu masomero ag’enjawulo, ng’omukulu ali mu S.3 ate ababiri batudde P.7 omwaka guno 2024.
Bisakiddwa: James Kaana Ssebuguzi