Olutalo mu kibiina kya FDC lwongede okulanda omukulembeze we kibiina kino e Najankumbi Eng Patrick Amuriat oboi yerayiridde okufaafaagana n’abagala okussatulula ekibiina.
Eng Patrick Amuriat Oboi asinzidde mu lukungaana lwa bannamawulire olutudde e Najjanankumbi mu Kampala nategeza nti bagenda kuggyayo enjala okulwanyisa ekiwayai kye Katonga ekyalangiridde nti okulwana baggyeyo n’agomubuto, FDC yonna eveewo.
Amuriat Oboi alabude Ssalongo Erias Lukwago,Col Kizza Besigye,Salaamu Musumba, ssemujju Nganda n’abalala abali ku ludda lw’e Katonga obutaddamu kweyita FDC era abayise bakazannyiikirizi ( Ddiikuula politics).
Ku monday nga 19 August,2024 FDC ya Katonga Road yatuuza ttabamiruka waayo, eyaliko omukulembeze wa FDC Rtd.Col Kizza Besigye era omu ku batandisi baayo, ye nebane baalangirira nti FDC bagisaanyeewo, batandike essuula empya.
Mu lukungaana lwabanna lwa bannamawulire e Najjankumbi Eng Patrick Amuriat oboi, abalabudde nti omupango gwonna gwebakola okusaanyaawo FDC tegujjakusoboka, nti kubanga nabo tebatudde.
Abawadde amagezi nti FDC bagyesonyiwe bakole nga Betty Kamya ne Gen Mugisha Muntu bwebaakola nebatondawo ebibiina byabwe nebabaviira mu mirembe.
Wabula Ssabawandiisi wa FDC e Katonga Harold Kaija agambye nti Amuriat bw’aba yali ayagala nnyo FDC yalina kwesonyiwa nsimbi ezigambibwa nti zaamuweebwa ne ssaabawandiisi wa FDC Nathan Nandala Mafaabi okuva mu NRM n’ekigendererwa eky’okutunda FDC mu NRM.