Omuliro ogutannamanyika kweguvudde gukutte negusanyaawo ennyumba ya ssentebe w’ekyalo Lwajja-Kinaakukka mu gombolola ye Kituntu mu district ye Mpigi.
Ennyumba ya ssentebe Monday Katula Vicent egenze okukwata omuliro ng’abaawaka bonna tebaliiwo.
Abatuuze bagamba nti omuliro gutandiise ku saawa nga kumi ez’olweggulo era tewali kintu nakimu kitaasiddwa mu maka gano.
Police etuuse ku kyalo kino naye esanze buli kintu kiweddewo.#