
Police mu Kampala n’emiriraano etandise okunoonyereza ku kiviiriddeko omuliro ogusaanyizzaawo amaduuka g’abasuubuzi ku National Theatre mu Kampala.
Omuliro guno gusaanyizzaawo amaduuka agatunda ebintu ebyenjawulo, omuli engoye, emmere , ebyokwewunda nekalonda omulala mungi.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano Luke Oweyisigire, ategezezza nti Sanjo Vincent abadde ayokya ebyuma ku National Theatre akwatiddwa nti yandiba nga yaavuddeko omuliro guno.
Ssanjo Vincent mu kiseera kino akuumibwa ku poliisi ya CPS mu Kampala,okuyambako mu kunoonyereza kwayo.