Abatuuze mu town council ye Ssekanyonyi mu district ye Mityana basanze akaseera akazibu akutaasa emmaali y’abasuubuzi, omuliro gukutte okuva mu kimmotoka ekibadde kitikkula amafuta ku sundiro Ly’omukyala amanyikiddwa nga Mutesi faridah.
Aberabiddeko n’agaabwe bagamba nti Omuliro gutandikidde mu lupiira okuggya amafuta mu kimotoka, oluvanyuma gukutte amaduuka agaliraanye essundiro lino okubadde agatunda engoye, eddagala ly’ebirime, sipeeya wa pikipiki ne birala.
Abatuuze nga beyambisa amazzi n’omusenyu bataakirizza amaduuka agamu era omuliro ne bagulinnya ku nfeete.
Ssentebe wa town council ye ssekanyonyi Gyaviira Mmiiro agambye nti wadde nga omuliro baguzikizza kyokka basanze okusomoozebwa olwobutaba na kimotoka kizikiriza muliro.
Abatuuze nga bayambibwako police bakozesezza mabaafu n’ebirala okuzikiza omuliro.
Bisakiddwa: James Kaana Ssebuguzi