Ebintu byabukadde nabukadde byebitokomokedde mu muliro ogukutte ebisulo by’abayizi abawala nabalenzi ku ssomero lya Joy Years Junior school erisangibwa mu division ya Kimaanya Kabonera mu kibuga Masaka.
Waabadde wakayita ennaku 2 zokka ng’emmotoka y’essomero lye limu UAA 326W eya 1200 nayo eyidde n’esaanaawo.
Omu kubaddukanya essomero lino Salimu Ssuuna agambye nti tewali muyizi yatuusiddwako buvune mu muliro guno era abayizi baabadde bonna baasindikibwa ewaka okulya Eid, era nga babadde basuubirwa kudda leero ku monday ku ssomero.
Ayogerera police mu Greater Masaka Twaha Kasirye agambye nti abadde tanafuna alipoota ejjudde ku muliro guno, wabula nti police yayambyeko okuguzikiza.#