Akakiiko k’Ebyokulonda mu ggwanga kaagala abakulira Ebitongole by’Okwerinda byonna bakangavvule abaserikale bonna abeenyigira mu kutabangula ebyokulonda.
Bwabadde asisinkanye abakulu mu kakiiko akalafuubanira Obwenkanya ka Equal opportunities commission ku kingdom Kampala, Ssentebe w’Akakiiko k’Ebyokulonda Simon Byabakama ategeezezza nti tewagenda kubaawo kuttira ku liiso muserikale yenna akozesa Obubi obuyinzabwe okutabangula eggwanga.
Byabakama ategeezezza nti obutabanguko obuleetebwa abebyokwerinda tebukoma ku kuttattana ddemokulaasiya, wabula n’okutataaganya ebyenfuna by’Eggwanga.
Mungeri yeemu Byabakama alabudde Abavubuka abeenyigira mu bikolwa eby’effujjo ,era abasabye beekube mu bifuba bakkakkane nga omukono gw’Ekyuuma tegunnabakwatako.
Ssentebe w’Akakiiko k’Obwenkanya aka Equal opportunities commission Hajjat Safia Nalule Jjuuko, asabye akalulu akalindiriddwa 2026 okubeeramu Obwenkanya ,Amazima n’Emirembe ,era asabye ebitundu bya Uganda ebikiikirirwa ababaka abenjawulo nga binnene bifune okukiikirirwa okumala mu Lukiiko lw’eggwanga Olukul.
Abasabye okuteekawo enkola ennuηamu esobozesa abantu abaliko Obulemu Okukuba akalulu nga tebatataaganyiziddwa, ate nga basomeseddwa ekimala ebikwata ku Ddembe lyabwe eryokulonda.
Bisakiddwa: Kato Denis