Ekitongole ekiramuzi kiwandukuludde omulamuzi weddaala erisooka Ssemogerere Ammaari amanyiddwa nga Mukisa Anthony mu ssiga eddamuzi lwakukiswaza.
Ssemogerere yakwatiddwa Police oluvannyuma lw’okusangibwa lubona ngatuulira muganzi we Irene Mutonyi ebibuuzo ku bbanguliro lya Bannamateeka erya LDC mu Kampala.
Ssemogerere abadde omu ku balamuzi abasukka 80 ababadde bakayingizibwa mu kitongole ekiramuzi wiiki bbiri eziyise.
Akulira abawandiisi ba kkooti Sarah Langa Siu agambye ezimu ku Mpagi ekitongole ekiramuzi kwekitambulira bwebwesimbu, nti olw’ensonga eyo tebasobola kukkiriza Ssemogerere kubeera mulamuzi mu kitongole kino olwempisa zayolesezza.
Ebbanguliro Lya Bannamateeka mu kiseera kino abayizi bakola bigezo ebyakamalirizo ku matabi okuli erye Kampala, Mbarara ne Lira.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam