Ekkanisa ya Uganda ekuzizza olunaku lw’abatume bonna mu nsi olumanyiddwa nga All Saints Day, n’okutuuza omumyuka w’omulabirizi wa Kampala omuggya, Rt. Rev Canon Fredrick Jackson Baalwa, n’okutongoza lutikko empya ey’obulabirizi buno enaatuza abantu 5,000.
Olunaku lw’abatume luno lukuzibwa buli nga 1 November, era abakkiriza mu kanisa ya Uganda, bategeka ebijjulo ebyamaanyi okusinza n’okujaguza, amaanyi n’obuyinza bw’omutonzi, nga kino kyatandika mu mwaka gwa 1918.
Rt. Rev Canon Fredrick Jackson Baalwa, azze mu bigere bya Rt Rev Hannington Mutebi awumudde obuwereza buno.
Nga tanatuuzibwa asoose kukubisibwa birayiro by’okugondera amateeka g’ekkanisa gonna nokwewala emize.
Omulabirizi Fredrick Jackson Baalwa, mukwogerakwe yeyamye nti wakukulembeza enkulakulana mu bulabirizi buno naddala ngakolagana n’omulabirizi era Ssabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda.
President wa Uganda Gen. Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni naye yetabye ku mikolo gino, n’avumirira bantu abeerimbika mu ddiini ate ng’ebikolwa byabwe tebyoleka kukkiriza.
President Museveni ku mukolo guno, awaaddeyo obukadde bwa shs 100 eri emirimu gy’ekkanisa, zaagambye nti ensimbi zino wakuziggya mu nte ze zaalunda.
Asuubizza okuteeka akawumbi kalamba mu mbalirira y’eggwanga ey’omwaka ogujja 2025-2026, okuliyirira ekkanisa ku ttaka lyaayo erye Makerere, government lyeyezza.
Akwasizza omulabirizi omujja, ekisumuluzo ky’emmotoka kapyata okumuyambako mu kutambuza emirimu
President awerekeddwako mukyalawe era minister w’ebyenjigiriza n’emizanyo, Janet Kataaha Museveni.
Ku mukolo gwe gumu abantu 6 baweereddwa ebitiibwa ebyobwa Canon, okuli minister w’amasanyalaze n’ebyobugagga eby’omuttaka, kati Canon Dr. Ruth Nankabirwa Ssentamu Ssegujja, Chancellor w’ekkanisa ya Uganda, munnamateeka Canon Naboth Muhirwe, Vivian Igundurwa, eyaliko ssentebe wekibiina ekitaba abasomesa ku ssetendekero wa Kyambogo, kati Canon Prof Grace Lubaale, Rev Canon Ssalongo David Sserwadda, ne Rev Canon Capt David Sserunjoji Ssalongo.
Wabaddewo n’omukolo gw’okufulumya abasumba n’abakadde bekkanisa abalala, era bano bonna, Ssaabalabirizi abakwasizza ssemateeka afuga ekkanisa ya Uganda ne ba Canon nebaweebwa ebbaluwa ezibakakasa ku bwa Canon mu bulabirizi bwa Kampala, ne Bbayibuli okubayamba okubuulira enjiri, nebakuba n’ebirayiro.
Mu kusooka, Rt. Rev Prof Alfred Olwa, omulabirizi we Lango, bwabadde akulembeddemu okubuulira mukusaba kuno, agambye nti ebiviiriddeko abavubuka okudduka mu kkanisa ya Uganda y’ekkanisa okugaana okukyusa empeereza yaayo gyebeyagaliramu.
Rt. Rev Prof Alfred Olwa, era yaabadde afumbirira n’okulungamya omumyuka w’omulabirizi owa Kampala omuggya, amuwabudde okufaayo ku bintu abavubuka byebaagala wadde naabakuze tasaanye kubasuulirira
Eyaliko ssabaminisita wa Uganda, John Patrick Amama Mbabazi, era nga yaaabadde ssentebe wenteekateeka, agambye nti lutikko ezimbiddwa ekubisamu emirundi 10 kweyo ebaddewo era yeesinga obunene mu mawanga ga East Africa.
Yakutuuza abantu 5,000 okuva ku bantu 400 ababadde mu lutikko enkadde.
Obwakabaka bwa Buganda ku mikolo gino bukiikiriddwa, omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro munna Rotary, Owek Robert Waggwa Nsibirwa n’omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda, Patrick Luwagga Mugumbule.
Omukolo guno gwetabiddwako bannabyabufuzi, abalabirizi abaweereza naabawummula, ba ssabadiikoni naabawaawule, nabantu abalala bangi.
Bisakiddwa: Ddungu Davis